TOP

Ekisaakaate bakiyombeddemu

Added 24th January 2010

Abaalekulidde kuliko eyaliko minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza Saudah Namyalo abadde ssentebe w’akakiiko akaddukanya Ekisaakaate, Anatole J Kiriggwajjo omumyuka we, Aloysius J Matovu abadde ayogerera Ekisaakaate, Henry Lubega, Andrew Kibuuka Ddamba, B Ttendo Mutale , Patrick Ssenyondo, Medad

Abaalekulidde kuliko eyaliko minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza Saudah Namyalo abadde ssentebe w’akakiiko akaddukanya Ekisaakaate, Anatole J Kiriggwajjo omumyuka we, Aloysius J Matovu abadde ayogerera Ekisaakaate, Henry Lubega, Andrew Kibuuka Ddamba, B Ttendo Mutale , Patrick Ssenyondo, Medadi Ssentanda ne Christopher Kibukutu Luwaga.

Namyalo yagambye nti baatandikawo Ekisaakaate nga baluubirira okulongoosa empisa z’abaana, bamanye obuvunaanyizibwa ku ggwanga lyabwe, Obwakabaka, okuwa abantu ekitiibwa  n’okumanya ebyobuwangwa n’ennono zaabwe.

“Nga tumaze enteekateeka zonna, twawandiikira Nabagereka akulemberemu Ekisaakaate. Tuzze tutambula bulungi, twasookera Naggalama mu 2007 n’abaana 300, ku Mbogo mu 2008 twafuna abaana  abasoba mu 700. Mu 2009 twali Seeta n’abaana nga 530 ng’a ku luno kyava ku bbula ly’amafuta eryatulobera okuweza 1000.

Abasomesa twapangisa 130 era bonna twabasasula.

Mu 2010 twasalawo tukitwale e Katikamu SDA, naye abalala baatuyita emabega  ne bawandiikira abantu nti kyakubeera Gayaza. Olw’okuba ffena abali ku lukiiko luno olukadde twali basomesa abayivu , Abaganda era abaagaliza Buganda ebirungi twasalawo tuleme kusiika muguwa ne tulekulira.

Ekisaakaate kino twakissaamu ssente zaffe nnyingi nga twagala tukole ekintu ekiweesa maama Nabagereka ekitiibwa kuba naye yatulaga nti asiima bye twali tukola.

 Ssente ze twali tusolooza mu baana  twazikozesanga bulungi ate nga tugattamu n’ezaffe. Nvudde mu Kisaakaate nga nkibanja obukadde obusukka mu 15,” Namyalo bwe yagambye.

Aloysius Matovu Joy (omu ku baalekulidde): Okutandika Ekisaakaate, abantu ab’enjawulo baasangibwa n’ekirowoozo kino. Twakitwalira eyali minisita omubeezi ow’e byenjigirizza, Saudah Namyalo nga twagala mu kifo kya bassenga abaagendanga mu masomero okuwemula abaana tufune ekintu ekisomesa abaana nga bafunamu ne tukikwasa Nabagereka.

Naye mu Kisaakaate kya 2009,  ebintu bingi ebyatwogerwako abantu ab’enjawulo abali beeyagaliza ekintu.

Ekyatuyambanga ennyo twalina obuwagizi bwa Maama Nabagereka  naye ng’ate mu ofiisi ye mwe muli abasinga okutulwanyisa nga bakulembeddwa omuwandiisi we owekyalama Juliet K  Ssenteza.

Olumu yatuwa ebbaluwa etugamba nti tetukkirizibwa kuddamu kwogera ku Kisaakaate! Naye ekirungi tuli basmesa, tujja kulaba engeri gye twongera okuyamba abantu ab’enjawulo nga tubasomesa ku mitendera egitali gimu kuba Ekisaakaate tekisobola kumalawo bantu bonna.

Anatole J Kiriggwajjo: Nze mu kiseera ky’okutandika Ekisaakaate nnali kaminsona e Mmengo mu minisitule y’ebyenjigiriza nga nvunaanyizibwa ku kunoonyereza.

Ebyasinga okutulekuliza, mu 2010 bwe twatuula nga bulijjo okulonda ekifo gye tunaateeka Ekisaakaate twasalawo tugende Katikamu SDA e Luweero.

Kyokka twagenda okulaba ng’ebbaluwa okuva ew’omuwandiisi wa Nabagereka ng’egamba nti kyalina kubeera Gayaza Junior . Olw’obutayagala kukaayana kwe kulekulira.

Bwe twawandiika ebbaluwa erekulira, Muky. Maria Kiwanuka yatuddamu nga October 7 2009 ng’atusiima emirimu gye tukoze.
Twafuna ebbaluwa endala ng’etulagira okuzzaayo ebintu by’Ekisaakaate mu bwangu, omuli ebikozesebwa n’ebiwandiiko nga October 29, 2009.

Olwo kwe kufuna ebbaluwa endala ng’etugaana okwogera ku Kisaakaate.”

Olukiiko lw’Ekisaakaate oluggya lutuulako   Kabuuza Mukasa (ssentebe), Florence Nakiwala Kiyingi (mumyuka)  , Apollonia Mugumbya (muwanika), Suzan Nalwoga (mwogezi), Rehema Kasule (kitunzi) ne Joanita Kawalya Muganga (mutendesi).

 Ssentebe w’Ekisakaate 2010 omuggya, Kabuuza Mukasa yagambye nti tagobanga ku ba lukiiko olukadde, nti be baasaba ne balekulira.

 “Abagunjuzi abasinga baasigalawo era tubadde tukola nabo mu Kisakaate 2010. Abaali bammemba b’olukiiko be baawummula bokka,” bwe yagambye.

Yannyonnyodde: Emirimu gy’Ekisaakaate n’enteekateeka zaakyo byonna byasigala nga bwe byali mpozzi twayongeramu enteekateka endala ey’Ekisaakaate ekinaabeerawo mu July nga kino kissiddwaawo olw’okusobozesa abaana abasomera mu masomero agali ebweru w’eggwanga n’abo abaagala okukyetabamu okufuna omukisa okukiyingira.
       
   

Ekisaakaate bakiyombeddemu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...