Oluguudo oluva e Kanganda, Nabiyagi ne luyita mu ssamba z’ebimuli bya kkampuni ya Eruma Roses ne lugatta Ggombolola y’e Kyampisi ku y’e Nama lwe lwonoonese, ekivuddeko entambula okukaluba.
Akulira kkampuni y’ebimuli eya Eruma Roses, Lawrence Kazibwe yagambye nti mmotoka zaabwe tezikyasobola kutuuka ku ssamba nga kati ebimuli babyetikka ku mitwe okubituusa gye zisigala, era bingi byonooneka.
Yagambye nti embeera y’enguudo ebafiiriza kinene kuba bakozesa abakozi abasoba mu 100 ate bawa n’omusolo gwa 300,000/- ku Ggombolola buli mwaka.
 Abatuuze Madiina Nanfuka, Ssanyu Nakayenze, Noah Kyeyune, Godfrey Kirabira n’abalala bagamba nti mu kiseera ky’enkuba kiyitirira kuba omugga Nabiyagi gwanjaala olwo ne basalikako mu by’entambula.
Omumyuka wa ssentebe wa Disitulikiti y’e Mukono, Livingstone Zziwa yagambye nti disitulikiti terina ssente kukola ku nguudo kyokka n’awa aba Ggombolola y’e Kyampisi amagezi bagule amafuta, disitulikiti ejja kubaweereza guleeda ku bwereere ekole ku luguudo luno.
Ab’e Kyampisi bakaaba tebalina we bayisa byamaguzi