TOP

Kati ekiddako kuyamba baabibanja kwegula - Museveni

Added 23rd December 2009

Kino kitegeeza nti nnannyini ttaka, omuntu omulala eyeesiga enguzi, omuserikale wa poliisi, omujaasi oba omulamuzi takyasobola kugoba nnannyini kibanja mu ngeri emenya mateeka. 
   
ENGUZI KU TTAKA TEKYAKOLA
Omuntu ne bw’anaakozesa enguzi tajja kusobola kug

Kino kitegeeza nti nnannyini ttaka, omuntu omulala eyeesiga enguzi, omuserikale wa poliisi, omujaasi oba omulamuzi takyasobola kugoba nnannyini kibanja mu ngeri emenya mateeka. 
   
ENGUZI KU TTAKA TEKYAKOLA
Omuntu ne bw’anaakozesa enguzi tajja kusobola kugoba waakibanja. Ssinga amugoba nga kkooti si yeeragidde ng’amateeka bwe galagira, Gavumenti kati erina obuyinza okumukwata n’emuvunaana mu mbuga z’amateeka.

Enteekateeka eno yaakiseera kyokka ewa obuweerero abeebibanja.

Kyokka okuyisa etteeka, lye nnaatera okussaako omukono litandike okukola, tekitegeeza nti okusika omugwa wakati wa bannannyini ttaka n’abeebibanja mu Buganda ne mu bitundu ebirala nti kunogeddwa eddagala.

Nnannyini ttaka akyalina obuzibu okukozesa ettaka lye eririko abeebibanja era kino kibadde  bwe kityo okumala emyaka mingi.

Mu ngeri yeemu n’oweekibanja  naye talina bwannannyini bujjuvu, talina kyapa. Kino kisosola abantu baabulijjo mu Buganda. Mu Konsitityusoni ya 1995, twassaamu akatundu akagamba nti abalina obwannanniyini ku bibanja ku lyali ettaka ly’olukale;  abalina liizi mu bitundu by’eggwanga ebirala, bonna basobola okufuna obwannannyini nga baweebwa ebyapa.

Naye abantu baabulijjo mu Buganda olw’okuba nga bali mu kikoligo ky’obunyunyunsi eryaleetebwa  abafuzi b’amatwale, tebasobola kuganyulwa mu kitundu kya Konsitityusoni kino.  

Kyewuunyisa okuba nti abagamba nti baagala nnyo Buganda, basobola okuwagira obutali bwenkanya buno. Kale kyetaagisa okusukkako ku bbago ly’okulongoosa mu tteeka eryakayisibwa Palamenti.

GAVT. EJJA KUBAWOLA Ekirowoozo ky’okwegula kisobola okukola ku bannamwandu, bamulekwa n’abalala abagwa mu ttuluba eryo. Naye abeebibanja  abeesobola bayinza okwewola ensimbi mu Gavumenti ku kibanja-mpola ne beegula. Basobola okuzisasula mu myaka ng’etaano. Ngezesezza enkola eno mu Ankole ewali obwa-nnannyini ku ttaka.

Omulangira   John Barigye yaguza Gavumenti ettaka lye  eririko abasenze abangi okumpi n’e Ishaka. Gavumenti yamusasula era kati abaali abeebibanja basobola okufuna ebyapa.

Omulangira Barigye yafuna ensimbi okwekolera ebirala ate abantu baabulijjo nabo ne bafuna obwannannyini ku ttaka. Mu kukola kino, nnannyini ttaka ne bannannyini bibanja bonna baaganyuddwa.

Omutawaana oguli mu Buganda, abamu  ku bannannyini ttaka tebalengera wala nga Barigye bwe yalengera. Barigye yasobola okukiraba nti tewali ddagala ddala lyali lisobola kunogerwa mbeera eyo ne litareetawo kutabukatabu

-ka na kutaataagana.  
Naye mu Buganda, abamu ku bannannyini ttaka nga bawagirwa Mmengo, balabika balowooza nti eddagala lya kino kugobaganya bantu baabulijjo.

Kino NRM ekigaanira ddala. Ekirungi, bannannyini ttaka nabo batonzeewo ekibiina ekibagatta (Land Owners Association). Nze nnali nnawagira dda okutondawo ekibiina ky’abeebibanja ekya  Bibanja Owners Association kye nnatongoza e Gombe nga July 12.

2008, ku ntikko ya kakuyege wa Mmengo ng’atulwanyisa olw’ebirowoozo byaffe ebiri mu bbago ly’okulongoosa etteeka ly’ettaka.
Tugenda kuteeseganya n’okutabaganya enjuyi zombi tulabe ekkubo erisinga obulungi lye tusaanidde okugoberera.  

Nnannyini ttaka ateekwa okuyambibwa  aleme kufiirwa kyokka ate ne nnannyini kibanja afune obwannannyini ku ttaka.

Ebibuuzo biri nti:
 Ani anaasasula nnannyini ttaka?
 Anaasasulwa waaki-banja  oba Gavumenti?  Kiki kye tunaakolera bannannyini mayiro abatayagala kutunda?

Abataagala kutunda tuko-le etteeka eribawaliriza? Kino tujja kukiteesaako n’ebibiina byombi (eky’abeebibanja n’eky’abettaka).

Abamu ku bannannyini ttaka abagenda n’omulembe akatuubagiro kano bakanogedde eddagala, ng’abeebibanja babasalirako ekitundu ku ttaka ne babawa ebyapa erisigadde ne balikozesa. Kino kisoboka abeebibanja gye batazimbye mayumba ga buwangaazi. Naye amayumba ag’obuwangaazi gye gazimbiddwa, amagezi amalala galina okusalibwa.

MU MAASO WATANGAAVU
Ebiseera eby’omu maaso bitangaavu. Gavumenti esobola okusasulira bannamwandu n’abakadde ate n’ewola ensimbi abeebibanja ezitaliiko magoba mangi ne basobola okwegula.

NRM ejja kukulembera abantu okumalawo okuv-voola kuno okwaleetebwa abafuzi b’amatwale okufaanana nga bwe yamalawo okutta abantu okwakolwanga amagye agaalekebwawo abafuzi b’amatwale, omuli  Kony, Abakaramoja abanyazi b’ente n’abajaasi ab’empisa ensiiwuufu mu ggye lya NRA/UPDF.

Ebyawandiikiddwa Pulezidenti bikyusiddwa  AHMED KATEREGGA MUSAAZI.

Kati ekiddako kuyamba baabibanja kwegula - Museveni

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....