Julius Mereeba okutabuka bwati kyaddiridde abaserikale ba poliisi eno, ab’enganda zaabwe wamu n’abasibe ababeera mu kaduukulu ka poliisi okwonoona kaabuyonjo y’essomero  nga basaasaanya kazambi mu luggya lw’essomero wamu ne mu nkuubo za kaabuyonjo y’essomero lino.
Bino byonna okubaawo abasawo b’ebyobulamu mu Mpigi baasoose kuggalawo kaabuyonjo ya poliisi y’e Kammengo gye buvuddeko, olw’embeera gye yalimu ng’efuuse ya bulabe eri abaali bagikozesa ne mu kitundu.
Mu kiseera kino kyonna abapoliisi y’e Kammengo babadde bakozesa kaabuyonjo ya ssomero lino kyokka yasangiddwa nga bagikozesezza bubi kubanga kazambi yabadde esaasaanye mu kitundu weeri ekyeraliikirizza abakakiiko akaddukanya essomero lino abaabadde n’olukiiko ku ssomero ne bawalirizibwa okubagugumbula.
Abaserikale nga bayambibwako abasibe baayonjezza kaabuyonjo n’okuyoola kazambi eyabadde asaasaanyiziddwa.
Omumyuka wa ssentebe w’akakiiko akaddukanya essomero lino yategeezezza nti poliisi yalagiddwa okusima kaabuyonjo eyaayo mu bwangu.
Akulira poliisi y’e Kammengo, Mw. Willy Kutambula eyabadde omukkakkamu yeetondedde Mereeba olw’abasajja be okweyisa batyo n’amusaba aboongereyo akaseera  ng’enteekateeka z’okusima eyaabwe bwe zigenda mu maaso.
Kigambibwa nti abakozi abaabadde ku mulimu gw’okusima ekinnya kya kaabuyonjo baabadde bayimirizza okusima olw’obutabasasula.
Babagobye mu kaabuyonjo y’essomero