Obuyambi buno buddiridde ekisuubizo kya Pulezidenti ng’omutuuze w’e Kisozi eri abatuuze okuzza obuggya essomero lino lituukane n’omulembe.
Heedimansita w’essomero lino, Mw. James Loli yategeezezza nti obubaka bwa Pulezidenti bwetikkiddwa abakungu be abaakulembeddwa Charles Muwonge abaabwanjulidde abazadde.
Abakungu bano baawerekeddwako akulira ebyenjigiriza mu Mpigi, C. Tonny Lusambo Mukasa, omumyuka w’akulira abakozi atuula e Gomba, F.K Nabirye ne Yinginiya wa Disitulikiti, Mw. J. Lukwago baayanjulidde abazadde entegeka z’okulizza obuggya Pulezidenti zeyenyigiddemu
“Bazze n’okulambula ekifo n’okukuba pulaani y’emirimu bwe ginaatambuzibwa okuzza essomero lino ku mulembe liddemu okusikiriza nga bwe lyabanga edda nga likyaddukanyizibwa Kiwanuka eyalitandikawo,†Loli bwe yategeezezza.
Loli agamba nti mu ntegeka empya, essomero lino ligenda kuddamu okuzimbibwako n’ebisulo by’abayizi, okusomesanga n’abaana ab’ekisulo ekitabaddewo okuva lwe lyaddizibwa abazadde.
Heedimasita agamba nti ng’oggyeko ebizimbe ebibiri ebyabazimbirwa mu nkola ya UPE n’ennyumba mw’asula yo embeera y’ebizimbe ebikadde ebyazimbibwa eyali nnannyiniryo Kiwanuka omuli ne ofiisi ye biri mu mbeera mbi nnyo.
Ebizimbe bikadde ng’ebimu ebisenge birimu enjatika era abazadde baasabye abakungu abakiikiridde Pulezidenti lifunirwe emmotoka kyokka ne bategeezebwa nti mu ntegeka eriwo tekibaddemu.
Agamba nti ekizibu ekirala ky’asanze mu nzirukanya y’essomero lino ly’ebbula ly’amazzi agali kiromita 10 okutuuka ku mugga Katonga nga kino kitaataaganya nnyo eby’ensoma y’abaana naddala mu biseera by’ekyeya bangi balemesebwa okusoma.
 Mw. Loli agamba nti awezza abayizi 384 n’abasomesa mukaaga (6) kyokka omuwendo gwabayizi gukyukakyuka okusinziira ku mbeera y’obudde kubanga abasinga abava mu maka malunzi abasengukasenguka mu budde bw’omusana okunoonyezza ente zaabwe omuddo n’amazzi.
Yagambye nti n’enjala etannaba kuvunnukwa mu Bannagomba olw’ekyeya ekibaddewo,abaana bangi abagenda tebannaba kudda so ng’abamu baali mu kwetegekera ebigezo bya PLE n’agamba nti n’abazadde b’ekitundu kino omulaka basinga kugussa ku bulunzi eb’okusomesa abaana babigendako kitono.
Obuzibu obulala, Mw.Loli agamba nti bwe bw’abasomesa abatumwa mu ssomero lino tebaagala kukolerayo olw’ebikozesebwa okubeera ebitono n’okubeera ewala n’ekibuga.
 Wabula mu ntegeka ya Pulezidenti,essomero ligenda kusibwako genereeta ennaayamba okuligabiriranga amassannyalaze okutuusa aga layini bwe galisikibwa okuligatussaako. Lijja kuteekebwako ttanka z’amazzi ennene ezinaayamba okukungaanya amazzi ag’okweyambisibwa.
                          Â
   Â
Â
Ab’e Kisozi Pulezidenti abawadde obukadde 300 319