TOP

‘Amazzi tukozesa ga bidiba’

Added 15th November 2009

Bagamba nti tebakyalina we baggya mazzi mayonjo ng’oluzzi lwe baalina ekitongole eky’obwannannyini ekya Kyetume Community Based Health Care (KCBHC) kyaluziba nga kati amazzi kigasindika gye bagakungaanyiza ne bagabaguza kyokka nti tebalina ssente.

Margaret Nalunkuuma yategeezezza nti ka

Bagamba nti tebakyalina we baggya mazzi mayonjo ng’oluzzi lwe baalina ekitongole eky’obwannannyini ekya Kyetume Community Based Health Care (KCBHC) kyaluziba nga kati amazzi kigasindika gye bagakungaanyiza ne bagabaguza kyokka nti tebalina ssente.

Margaret Nalunkuuma yategeezezza nti kati amazzi bagakima mu bidiba ebiri mu bibira kyokka ng’ente mwe zinyweera ate ge banywa n’okukozesa mu by’awaka ebirala. Bagamba nti bayinza okulumbibwa ebirwadde omuli kkolera, ekiddukano eky’omusaayi n’ebirala.

Nalunkuuma yagambye nti baabasombesa omusenyu, amayinja ne babaggyako 3,000/- buli omu kyokka nga kati oluzzi lwazibwa ng’oluliwo amazzi makyafu.

Akola ng’omukubiriza w’abantu ku kakiiko k’ekyalo, James Kiyimba yagambye nti mu biseera bino abatuuze bagenda mu byalo ebibaliraanye okufuna ku mazzi amayonjo ate nga wala.

Yagambye nti abatuuze abamu baalumbibwa ekiddukano nga kiteeberezebwa nti kyandiba nga kyava ku bukyafu bw’amazzi.
Ssentebe w’ekyalo, Juliet Talidda yategeezezza nti abatuuze baamuleetera okwemulugunya kwabwe n’ayogerako n’abekitongole kino era n’awandiikira ab’omuluka n’Abeggombolola ku nsonga eno.

Akulira pulojekiti y’amazzi mu kitongole kya KCBHC,  Ronald Ssekamanya yagambye nti ensonga eno bagikolako kyokka n’alumiriza ssentebe w’omuluka, Samuel Musisi  okukozesa ekifo kye okulemesa enkulaakulana eno olw’okuba baamuwummuza ku lukiiko lw’ekyalo olwali luddukanya amazzi olw’emivuyo egyali gikolebwa.

Twaddaabirizanga taapu zino emirundi egisoba mu esatu ng’abatuuze bazoonoona naffe kwe kulinda tumale okutuuka ku nzikiriziganya nabo,” Ssekama-nya bwe yannyonnyodde.

Yategeezezza nti mu kiseera kino batambuza amazzi okugatuusa ku batuuze nga babaguza ekidomola ku 75/- kyokka nga mu nteekateeka eno, abakadde, abalwadde n’abalina obulemu ku mibiri babawa ebidomola by’amazzi 2 eby’obwereere buli lunaku.
Yayongeddeko nti abatuuze abamu basiba ente ku luzzi ne zonoona ebintu bye bakola ng’abamu gye bee-yamba nti kyandiba nga na-kyo kibaleetera endwadde.

Ate ye akulira entambula y’emirimu mu kitongole kino, Reuben Mubiru yagambye nti bannabyabufuzi abamu ku kyalo babalwanyisa nga bwe bakola ebintu ebiyamba abatuuze ng’ate bbo babayitamu nga babalagira batusimbire amakuuli.

Yategeezezza nti boogereganya n’abatuuze okulaba nga batuuka ku kukkaanya. Yagambye nti baliko pulojekiti z’amazzi bbiri ze baatandika omuli ey’e Kyetume n’e Bukasa kyokka nga zonna ziremesebwa bannabyabufuzi bano.

Wabula ye Musisi yategeezezza nti wadde baamuggya ku kakiiko k’amazzi, talina ntegeka yonna eremesa bikolebwa.

‘Amazzi tukozesa ga bidiba’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...

Most Venerable Bhante Buddharakkhita (Kaboggoza mu byambalo ebiwanvu) ng’ ayimiridde n’abatuuze wamu n’abakulembeze .

Bannabayabufuzi mutuyambe t...

ABATUUZE b'e Ntebe mu butundu by'e Nakiwogo, Lugonjo balaajanidde Pulezidenti Museveni n'abazirakisa okubayamba...