“Nsuubira nti okukunga abantu balime emmere bakitya si kulwa nga kibammisa akalulu ekivuddeko enjala okukosa ebyalo,†Minisita bwe yagambye ng’ali ku kitebe kya Disitulikiti y’e Masaka we yavudde n’agenda alambula ensuku n’emisiri gy’emmwanyi ebikaze oluvannyuma lw’okulumbibwa obuwuka.
Bino Minisita yabyogedde baakamuloopera abalimi b’e Masaka nti bagaana amagezi agabaweebwa abalimisa mu byalo ekivuddeko emmwanyi n’ebitooke okulumbibwa endwadde ezikaza ebimera bino.
Yavumiridde abalimi abalowoleza mu kusaba obuyambi mu Gavumenti n’agamba nti kino kyongera kubanafuya naddala bwe kiba nti obulimi babufunamu.
‘Akalulu tekabakozesa nsobi’