“Mwegendereze okukuza abaana omuwawa ng’obuwangwa n’ennono mubisudde muguluka naddala ku nsonga y’ettaka kuba baggya kulibatwalako,†Fr. Emmanuel Ssewannyana bwe yagambye mu Mmisa gye yakulembedde okusabira omusika w’omugenzi Adeera Nakibuuka Bukirwa ayitibwa Pross Nanyanzi e Kafumu-Mpigi ku Lwomukaaga.
Omukulu w’ennyumba ya Nyumb’ewunya buganga, omutaka Benard Kyagulanyi ye yataddeko omusika n’amukuutiira okugatta bamulekwa Yamubuuliridde asse mu Kabaka ekitibwa.            Â
Faaza alabudde ku buwangwa