Esther Girida 28, yata-buse ng’ategedde nti bba Mohammed Kasadha akola ogw’obukuumi afunyeeyo omugole.
 Bino byabadde Bukolo-oto mu Kayunga wiiki ewedde. Girida, yasoose ku mwana Sophia Katalo 2 n’amukuba bbulooka n’emuyuza eriiso bwe baamumuggyeko n’akka ku w’emyezi omukaaga n’amutuga, ab’oku muliraano be baamutaasizza.
 “Ssisobola kufumba na muggya wange, njagala Mohammed mmulekere emirembe n’omugole naye ng’okusimbula eki-gere nnabadde njagala ndeke nga abaana bange mbaziise,†bwe yagambye.
 Omuduumizi wa poliisi e Kayunga, Charles Nuwagira yagambye nti omukazi waakuvunaani-bwa okugezaako okutta, bbo abaana bali mu ddwaaliro e Kayunga.
Abadde atuga abaana be