
OMUVUBUKA Ronald Mugula agamba nti kafulu mu kukuba ensambaggere aliko ekyana ekyamufunzizza ne kimuwa essanyu. Ggaayi ono ye yasoose okutuuka ku wooteeri ya Calender e Makindye n’ekyana ne kiyingirawo.
Baatandise okulasa oluboozi n’okwekuba obwama n’ekyaddiridde nseko ezitasalako. Oluvannyuma Mugula yaggyeyo kompyuta ye ey’ekika kya Laptop n’abaako ebifaananyi ng’akuba Abazungu emigere byalaga Alice Namatovu.
Banywanyi ba Mugula baalabye obukule bususse kwe kumubuuza nti, ssebo ani oyo akussa enseko? Yabazzeemu nti maneja wange era ezo enseko zonna baabaddeko ddiiru ze bakutula. Yagambye nti emigere abadde agikubira Girimaani okuva mu 2007 kyokka bwe yawulira ng’Abazungu Golola bamufudde ‘kimpe nkyekubire’ kwe kukomawo ategekeyo ennwana nga ziizo abalage omuliro era mu October wa 2012 atandikira ku Nagy eyakuba Golola.
Ow''ensambaggere ekyana kimufunzizza