
OMUSUUBUZI w’engatto mu katale ka St. Balikuddembe abadde atera okugenda mu ddwaaliro e Mulago n’abbira abantu mu lifuti awonedde watono okugajambulwa abantu.
Ssaalongo James Otto omutuuze w’e Zzana kigambibwa nti yayingidde mu lifuti n’asowola ssente z’omujjanjabi 10,000/- mu nsawo n’afuluma lifuti n’adduka.
Abantu abaabaddemu baagivuddemu ne bamugoba emisinde. Yabadde akyabeetooloza eddwaaliro poliisi n’emutaayiza n’emukwata Bino byabaddewo ku ssaawa nga nnya ez’oku makya wiiki ewedde.
Akulira poliisi y’e Mulago, Alex Edunyu yamubuuzizza ekyabadde kimuddusa nga ssi mubbi n’amutegeeza nti yatidde okuttibwa ekibinja ky’abantu abaabadde beesomye.
Ssaalongo bamuyodde