TOP

'Ofiisa bwe mutanta ng'enda kubasera'

Added 27th September 2012

KATEMBA yabadde ku poliisi ya Luzige mu Kisenyi omuvubuka Ismail Mukasa bweyaseze poliisi

KATEMBA yabadde ku poliisi ya Luzige mu Kisenyi omuvubuka eyategeerekese nga Ismail Mukasa bwe yeeyambulidde abaserikale ng’agamba nti singa tebamuyimbula mu kaduukulu gye bamusibidde agenda kubasera kuba baamusibidde bwereere.

Mukasa yabadde avunaanibwa omusango gw’okusaalimbira mu maka ga muliraanwa nga kigambibwa nti baamusanze atigaatiga yaaya w’omu maka gano.

Olwamukutte ne bamutwala mu kaduukulu kyokka nga yeegaana nga bw’atannazza ku musango guno era bwe yalabye abaserikale bagaanyi okumuwuliriza kwe kweyambulamu engoye n’asigala bukunya.

Abaserikale baakanze kumugaana kweyambula nga tawulira era bwe yabalemeredde kwe kutumya abaserikale abalala ne bamutwala ku poliisi ya Kampalamukadde. Omusango gwe guli ku fayiro nnamba CRB3107/2012.


  Mukasa nga yeeyambudde mu kaduukulu.

‘Ofiisa bwe mutanta ng’enda kubasera’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu