BULI mulimu gulina empeera. Naye n’ono okwagala eby’obwereere kumusudde ku migandu. Yalinnye takisi ng’alabika talinaamu yadde ekuba ennyonyi.
Bwe yatuuse w’aviiramu n’asaba dereeva ayimirire. Kondakita yamusabye ssente n’amuddamu nti, “nze ndi sitaafu sisasula...” Kondakita yamuzzeemu nti, “ebya sitaafu tebikyakola kubanga UTODA gye mwakoleranga
si y’eno eriwo...”
Oli n’amusindika n’ekyaddiridde kukubagana. Katemba ono yabadde mu takisi emu ey’e Gayaza. Ono omusaabaze eyagaanyi okusasula, takisi yagirinnyidde Wandegeya ku Lwomukaaga.
Eby’endola bimukubizza