TOP

Judith Babirye bamuziriridde ekivvulu

Added 18th February 2013

EYATEGESE ekivvulu kya Judith Babirye ku Satellite Beach e Mukono ekintu kimutuulidde oba tugambe kimusaze.

EYATEGESE ekivvulu kya Judith Babirye ku Satellite Beach e Mukono ekintu kimutuulidde oba tugambe kimusaze.

Ekivvulu kino kye baatuumye ‘‘Maama Extra’’ guno gwabadde mulundi gwakubiri nga bakiteeka mu kifo kino.
Wabula ye Babirye teyabadde mubi n’alinnya ku siteegi ku ssaawa nga ttaano ez’ekiro n’akooka ennyimba nga ziizo n’alinnya mmotoka ye n’abulawo.

Yabadde awerekeddwaako Martin Angume ne Doreen Mutiibwa nabo abaayimbye nga tebafudde ku nnamba y’abantu olwo omugugu ne gusigalira omugagga eyabaleese ng’atoba n’amabanja ge.

Tetwategedde oba abadigize b’e Mukono baabadde baavu naddala mu biseera bino nga banoonya ffiizi z’okuzaayo abaana baabwe ku ssomero oba baazize buzizi ekivvulu.

Obumu ku butebe obukalu  mu kivvulu kya Babirye.

Judith Babirye bamuziriridde ekivvulu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Abakyala balaajanye ku mivu...

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale...

Fr. Kabagira ne Fr. Henry Mubiru nga bassa ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga bwe baabadde bamujjukira.  Yafa nga February 22, 1966.

Abakkiriza bajjukidde Ssaab...

Ssabasumba Kiwanuka yafuuka ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye galwanaganye n'ababb...

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka...

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...