
Omuyimbi Rocky Giant amaaso gamumyukidde ku poliisi bwe bamukwatidde mu kikwekweto ekyakoleddwa okufuuza abavuga nga batamidde.
Yasuze ku poliisi ya Kira Division mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu bwe yavadde ava mu bitundu by’e Kira.
Mu kusooka, baatugambye nti naye baamuwunyisizza mu kuuma akakebera abatamiivu kyokka ye yatugambye nti baamukutte lwa butaba na pamiti.
Rocky Giant atuuyanidde mu kaduukulu ka poliisi