
AISHA Kirabo, muwala wa Salim Saleh ayongedde okulaga nti ye ssente si kizibu kye. Ategekedde muwala we akabaga k’amazaalibwa ag’emyaka omusanvu naye ng’ogamba nti kivvulu.
Akabaga kano akaabadde ku New Wallet Pub
e Kabuusu ku Lwomukaaga, kaabaddeko abayimbi Aziz Azion, Irene Namatovu, Full Figure n’abalala abaasanyusizza abantu.
Muwala wa Aisha gwe yakoledde akabaga ye Mercy Nakayima naye muyimbi muto. Aisha mutegesi wa bivvulu. Oba abayimbi yabasasudde mmeka? Nze naawe!
Muwala wa Aisha atandise okuyimba