TOP

Eng'uumi enyoose ewa Chameleone

Added 24th May 2013

ABAAGENZE okulya obulamu bavuddeyo bafeesa.



ABAAGENZE okulya obulamu bavuddeyo bafeesa.

Eno y’embeera eyatuuse ku bamu ku badigize abaabadde ku Dance Flo e Nateete mu ndongo ya Jose Chameleone gye buvuddeko.

Chameleone olwalinnye ku siteegi, abantu ne bacamuka. Abalala, baasiseeyo mmane mu nsawo ne batandika okusunda ebbidde.

Mu bano mwe mwabadde n’omusajja eyabadde n’omukazi (tetwategedde oba mukyala we naye ng’obwedda beewaamu bombi).

 

LUNO LUYI OBA KIRALA? Ekibatu ky’omukazi nga kiri ku ttama ly’omusajja.

 

Wabula, tetwategedde kyabatabudde. Twagenze okulaba ng’omuwala manya omukazi aviira mu musajja oluyi. Omusajja yabadde agezaako okuzza omuliro, weyita w’ekifo kino n’amubaka omukono olwo omukazi ne yeetegula.

 

Omukazi ng’adduka, emabega (wakati) nga weyita akutte omukono gw’omusajja.

 

Bano baabadde beezooba, ate okuva oludda olulala ng’omusajja eyalabise ng’asitula obuzito nga bumwefuka n’omulala ow’akalevu.

Wano abanguya ebigambo kwe kubisala nti kirabika endongo ya Chameleone y’ebakutte ku mitwe. Naye abaffe!

TONZANNYIRAKO: Buli omu bw’alabika okulabula munne.

Bw’onyumirwa ate ofunya bikonde olumye abalala!!!

Eng’uumi enyoose ewa Chameleone

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.