TOP

Zawedde acamudde Otunnu ne yeekuula akasente

Added 7th June 2013

SARAH Zawedde yategese omukolo ku Fairway Hotel mu Kampala ku Lwokutaano oluwedde.



SARAH Zawedde yategese omukolo ku Fairway Hotel mu Kampala ku Lwokutaano oluwedde.

Akabaga kano, yabadde ajaguza bbandi ye eya Zawee okuweza emyaka ebiri. Ku kabaga kano,

Olara Otunnu owa UPC naye yabaddeko. Mu kusooka, obwedda bakuba emiziki ng’alinga eyazze ku lumbe kubanga yabadde taseka.
 
Otunu ng'azina n'omuwala
 
Wabula ekiseera kyatuuse n’acamuka n’ava mu ntebe n’atandika okuzina. Yasoose kuzina n’omuwala omu nga bwe beekuba bbampu.
 
Ekyaddiridde, kukwatagana ne Sarah Zawedde ne babiibyamu. Ssaawa y’okugula obutambi bwe yatuuse, abawala okwabadde n’oli eyakubye Otunnu bbampu ne bamusalako.
 
 
Yeekuttekutte n’asikayo ssente ze tutaategedde. Naye kwabaddeko aka 10,000/-, 20,000/- ne 5,000/- abantu kye baayise okwekuula!

Zawedde acamudde Otunnu ne yeekuula akasente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakooza Mutale

Mutale awabudde Museveni: '...

MAJ. Kakooza Mutale awabudde Pulezidenti Museveni nti ekya NRM okuwangulwa mu Buganda si kubeera basosoze mu mawanga,...

Katebalirwe

'Gavumenti yabadde ntuufu o...

AKAKIIKO k'eddembe ly'obuntu kayise ba agenti b'abeesimbyewo abaakwatiddwa oba okutaataaganyizibwa ku lunaku lw'okulonda,...

Ssebunnya

Ssebunnya alambuludde ebyas...

OMUWABUZI wa Pulezidenti Museveni ku nsonga za Buganda, Robert Ssebunnya avuddeyo n'ayogera ku mbeera y'ebyokulonda...

Nabirah.

Omuliro mu kalulu ka Bammeeya

BANNAKAMPALA basuze mu keetereekerero okulonda Loodi Meeya wabula ekibuuzo ekiri mu bantu kiri kimu: Erias Lukwago...

Bano baabadde ku boodabooda nga batwala omulwadde mu ddwaaliro.

Basonze ku kyasuddeMuseveni...

ABATUUZE mu disitulikiti y'e Mayuge n'abakulembeze boogedde lwaki Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine' owa NUP...