TOP

Rema adduse ewa Kenzo n'agenda ewa Ssaalongo!

Added 22nd June 2013

AGAVA e Buziga omuyimbi Eddie Kenzo owa Sitamina gyabuyiwa ennaku zino ge ga mukwano gwe Rema Namakula owa ‘Oli wange’ okumuddukako.AGAVA e Buziga omuyimbi Eddie Kenzo owa Sitamina gyabuyiwa ennaku zino ge ga mukwano gwe Rema Namakula owa ‘Oli wange’ okumuddukako.

Mbu asibidde wa maneja wa Chris Evans, Ssaalongo Godfrey Kayemba ng’era gye biggweeredde nga bakutudde ddiiru. Ddiiru gye balimu si ya ‘gundi nkwagala’ wabula ya bbizinensi na kukola ssente.

Owoolugambo waffe atugambye nti Rema yasabye Kayemba amugatte ku Chris Evans naye amumanejinge n’okumuyambako okumutambuliza ennyimba ze.

W’osomera bino nga bateekateeka kukwata vidiyo y’oluyimba lwe olupya ‘Kukaliba’. Kayemba yagambye nti Rema muyimbi mulungi ng’abadde abulamu omuntu amukwata ku mukono era kye yakoze.

Wabula abamu olwawulidde bino ne beebuuza nti Kayemba ayagala kukola bbandi?

Omuyimbi Bebe Cool ye yasooka okukaayanira Rema ng’agamba nti ye yamuyigiriza okuyimba era yamuteekamu ssente ze nnyingi nga tasobola kukkiriza muntu mulala kumuzannyirako.

Rema adduse ewa Kenzo n’agenda ewa Ssaalongo!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu