TOP

Laba omusajja bw'andyako ennyama

Added 8th July 2013

DENIS Oryema omusuubuzi w’amayumba n’ettaka e Ntinda gwe baakazaako erya ‘Musiga nsimbi’ bw’atuuka ku mucomo tasaaga. Kino twakirabidde mu kivvulu kya Haruna ku Hotel Equatoria wiiki ewedde.



DENIS Oryema omusuubuzi w’amayumba n’ettaka e Ntinda gwe baakazaako erya ‘Musiga nsimbi’ bw’atuuka ku mucomo tasaaga. Kino twakirabidde mu kivvulu kya Haruna ku Hotel Equatoria wiiki ewedde.

Oryema yazze n’abavubuka be nga bulijjo era baatudde mu kifo ky’abakungu.

Yalabye endongo ekutte akati, kwe kuva mu ntebe n’adda emabega okunoonya ekyokulya.

Yasibidde ku sigiri ya mucomo n’agulayo omusito.

Omu ku bavubuka yamugoberedde kyokka teyamukombezza ku mucomo era obwedda amutunuulidde ng’alinga agamba nti, ‘‘yiii...laba bboosi bw’andyako ennyama’’.

Ate obwedda buli lw’asikako akafi nga yeetegereza esigaddeko. Oba yabadde tayagala eggweeko olw’obuwoomi?

Ggaayi ono ateeka ne ssente mu bayimbi abato nga Stipperman era tagwa bivvulu.

Laba omusajja bw’andyako ennyama

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.