TOP

Chameleone atabuse n'abategesi lwa byuma

Added 29th August 2013

OMUYIMBI Jose Chameleone yeezoobye n'abategesi b'ekivvulu e Mityana. Obuzibu bwavudde ku mukulu ono okutandika okuyimba kyokka ebyuma ne byecanga.



OMUYIMBI Jose Chameleone yeezoobye n'abategesi b'ekivvulu e Mityana. Obuzibu bwavudde ku mukulu ono okutandika okuyimba kyokka ebyuma ne byecanga.

Abategesi baasoose kusuubiza nti omukubi w'ebikonde Moses Golola ye yabadde agenda okuba kalabaalaba w'ekivvulu kyokka natalabikako ate laba ne Chameleone okutuuka okuyimba ebyuma ne byecanga.

Yatuuse ku ssaawa nga 6:00 ez'ekiro era yasanze waliwo abayimba kyokka ye n'ayagala atandikirewo.

Baamuwadde akazindaalo kyokka yabadde atandika okuyimba ebyuma ne byecanga olwo bakazaanyirizi ‘Abazeeyi b'e Bbama’ ne badda ku siteegi, okubeesabeesa abantu anti nga nabo batandise okusaba bbaalansi waabwe. 

Baabitereezezza era Chameleone n'addamu okuyimba, wabula yayimbyeyo oluyimba lumu era ne biddamu okufa ne yeecanga n'ava ne ku siteegi wamma abantu ne balya obuwuka.

Baamwegayiridde era naddayo ku siteegi n'akuba abadigize emiziki era baagenze okuvaayo nga tebatoma. Byabadde mu kivvulu ekya 'Tondeka mu Badilisha'.

Chameleone atabuse n''abategesi lwa byuma

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi...

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...