
ABATUUZE b’oku kyalo Namiryango Kiti mu Ggombolola y’e Bukulula mu disitulikiti y’e Kalungu bazinze amaka ga Hassan Buloddo ne basangayo amatooke amabbe.
Ab’akakiiko bamukutte ne bamuyisaamu empi. Bakutte n’omugole we Patricia Nakayiwa ne bamukunya nga baagala ababuulire bba gye yaggye amatooke.
Nakayiwa yabyegaanyi ng’agamba nti bba y’amanyi gy’atwala amatooke kubanga ye alya muwogo yekka. Ate bw’alabye bba bamutadde ku kabangali bamutwala ku poliisi n’atema omulanga.
Yabadde akaabira omufaliso bannannyini matooke gwe baabawambyeko ng’alaba agenda kusula ku kiwempe.
Omugole yeegaanidde bba mu lukiiko lwa LC