MICKIE Wine yakubye emiziki egyafuukudde abadigize. Waliwo omukyala eyabadde n’endoddo y’ebbina eyatandise okuzina ng’agikankanya gyobeera nti musisi amuyiseemu.
Mickie yamutunuulidde n’amwetegereza nga naye tabitegeera. Yamulumbye n’akutama n’ateeka okutu ku kabina k’omukazi ono okuwuliriza ekigenda mu maaso.
Embeera eno yasesezza abadigize ng’eno bwe beebuuza nti ggaayi ono musawo wa bubina oba?
Yabadde mu kivvulu kya Rema Namakula ku Hotel Equatoria ku Lwokutaano.
Mickie Wine musawo wa bubina?