PULEZIDENTI Museveni newankubadde ye Ssentebe w’ekibiina kya NRM, oluusi tasosola ba bibiina birala.
Alina omukolo gwe yabaddeko ku Hotel Africana gye buvuddeko n’alengera omubaka Winnie Kiiza owa FDC n’amutumya.
Owoolugambo waffe atugambye nti engeri gye yasanyuseemu ng’alinga agamba nti newankubadde oli wa FDC, mpa ku bugalo.
Museveni yasoose kwebaza mumyuka wa Sipiika Jacob Oulanya olw’engeri gy’akuttemu abamu ku babaka be yayise bamawale naddala ab’oludda oluvuganya.
Wano Winnie kwe kumulya ekimuli nti Pulezidenti, ebyo by’olowooza si bituufu lwa kuba tuli nkoko njeru. Baabadde ku Hotel Africana.
Muwala, wadde oli wa FDC jjangu ombuzeeko!