
Omuvubuka ono agambibwa okunyakula akasimu k’omu ngalo mu dduuka n’abulawo nga tasasudde katono Ssekukkulu emusange nga takyateganya bafumba.
Yakubiddwa emiggo n’ensambaggere katono bamumize omusu era singa teyabadde poliisi kwanguwa kumutaasa yandibadde mbuyaga ezikaza engoye.
Ggaayi ono baamukubidde ku luguudo lw’e Bugerere okumpi ne paaka ya takisi e Mukono gye buvuddeko. Ggaayi ono eyeeyise Kaye ye yakubiddwa.
Oluvannyuma baamukutte ne bamutwala ku poliisi y’e Mukono era yawuliddwa ng’agamba nti mponye amagombe.
Eyabbye essimu ng’anoonya Ssekukkulu bamuwutudde