TOP

Bakunyizza omukungu mayiki n'agiteeka ku matu

Added 20th February 2014

MUZEEYI Sam Male ow’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kutunda ebintu ebyalekebwa Abayindi abaagobwa Idi Amin yayiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensaasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo nga baliko ebibuuzo bye bamubuuza.



MUZEEYI Sam Male ow’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kutunda ebintu ebyalekebwa Abayindi abaagobwa Idi Amin yayiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensaasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo nga baliko ebibuuzo bye bamubuuza.

Ekituufu kiri nti baamusoyezza ebibuuzo ne bimuyitirirako n’asoberwa. Eyabadde alina okwogerera ku muzindaalo guyite ‘mayiki’ n’aguvaako.

Bwe yazzeemu okugukwata mu kifo ky’okuguteeka ku mumwa yagutadde ku matu gyoli nti ‘amatu’ gy’emimwa gy’ayogeza olwo ababaka ne bafa enseko.

Ababaka baamukubye olwali nti engeri gy’anaatera okunnyuka emirimu gya gavumenti ajja kuyiga okwogerera obulungi ku muzindaalo.

Oluvannyuma omukozi wa palamenti yazze n’amulung’amya engeri y’okukozesaamu omuzindaalo embeera n’erongooka. Yabadde abuuzibwa ku ngeri ekitongole kino gye kikolamu emirimu gyakyo.

Oba ebibuuzo bye byamuyitiriddeko ne bimutabula naffe tetwategedde.

Bakunyizza omukungu mayiki n’agiteeka ku matu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...