
Ebyana bifunzizza Hajji Haruna Mubiru Kitooke ne bimubuza embiibya. Mubiru yakubye emiziki egyacamudde abadigize n’abaabadde batudde ne bayimuka.
Yabadde yaakamaliriza okuyimba ng’afuluma ku mulyango, ebyana ne bimusalako ne bitandika okuleekaanira waggulu okumusanyukira eno nga bwe bimugwa mu kafuba.
Waliwo ekyana ekyabadde kipise ebbeere ekyamusanyukidde ennyo ne kimukwata ne kimunyweza nga talina bw’akyeggyako era bakanyama be baamutaasizza.
Baabadde Kanyanya ku Whisper’s Club gye buvuddeko.
Ekyana kipise ebbeere ne kyefunza Kitooke