TOP

Bano mu kuteesa baamalayo...

Added 4th June 2014

OLUGERO olugamba nti, ‘otulo tetumanya alirira nnyina’ lwatuukidde bulungi ku batuuze abaagenze mu lukiiko okuteesa ku bizibu ebibaluma ate ne badda mu kwebaka.



OLUGERO olugamba nti, ‘otulo tetumanya alirira nnyina’ lwatuukidde bulungi ku batuuze abaagenze mu lukiiko okuteesa ku bizibu ebibaluma ate ne badda mu kwebaka.

Baabadde mu lukiiko olwatuuziddwa ku ssomero ly'e Kalokero mu Ggombolola ya Kalungu Rural mu disitulikiti ey'e Kalungu olwayitiddwa abakulembeze okuteesa ku nsonga eziruma ab’ekitundu.

Ono yeebase alinga ali ewuwe.

Lwatuuziddwa omubaka omukazi owa Kalungu Florence Kintu Mutebi era lwayogereddwaamu aboogezi abawera nga kirabika kye kyavuddeko abantu bano okukoowa.

Abamu baakooyedde ku ntebe okukkakkana nga ze bafudde obutto ne beebaka. Abalala baatuuse n’okuva ku ntebe ne bagalamira mu busubi basimule otulo otuwera ate abandi nga basumaagirira
we baabadde olwo buli omu n’atandika okuloota ekikye.

Ono kasita yafunye enkondo n’asima otulo ng’alinga eyeetegereza eyabadde ayogera.

Bakira buli ababalaba beebuuza ekyabaleese mu lukiiko luno. Anti baagenze okusisimuka nga luwedde
era oluyimba lw’eggwanga lwe lwabazuukusizza.

Musajjamukulu otulo tetumuwoomera ng’atudde kwe kusalawo okwebaka mu bisubi.
Yabadde yeetimbye akapande ka Kabaka ne Katikkiro Mayiga.

Bano mu kuteesa baamalayo...

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...