TOP

Omuyimbi Red Banton agaanye okuva mu Kampala!

Added 12th July 2014

MULOGO ki eyaloga omuyimbi Red Banton n'awanika n'engoye?? Ebizibu bye kirabika tebiggwa! Yasangiddwa ku Poliisi y'e Katwe ng'atudde amaziga gamuyitamu mu kiro ekikeesa Olwomukaaga.




Bya Eria Luyimbazi

MULOGO ki eyaloga omuyimbi Red Banton n'awanika n'engoye?? Ebizibu bye kirabika tebiggwa! Yasangiddwa ku Poliisi y'e Katwe ng'atudde amaziga gamuyitamu mu kiro ekikeesa Olwomukaaga.

Omu ku bantu abaabaddewo yagambye nti Red Banton eyayimba “Sijja kuva Kampala ŋŋaanye'' yabadde ayita ku basirikale ba Poliisi y'e Katwe abaabadde bakwata abavuga batamidde nga yenna atagalira mu luguudo ne basalawo okumuzza ku mabbali kyokka n'awalaliza empaka ne basalawo okumwata yogaayoga ku Poliisi.

Yasaazeewo okutuula mu ttaka yenna ng'ajjudde ennaku nnyingi n'gamba nti waliwo owa poliisi eyamufuuyidde ttiyaggaasi wa kaamulali mu maaso ng'ayagala akwatibwe.

Abantu abaabadde bayitawo baanenyezza Red Banton olwokulemererwa okusitula omutindo gw'ekitone kye afune ku ssente ezeegasa asobole okuva mu mbeera embi ey’okutambuza ebigere.

Yavudde ku poliisi e Katwe ng'awera okufaafaagana n’omusirikale n'omupoliisi eyamufuuyidde kaamulali mu maaso

Kyokka Red Banton....! Ddala tojja kuva Kampala.

 

Omuyimbi Red Banton agaanye okuva e Kampala!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....