
ABAMU badduse kiwalazima nga bwe beekweka mu myala okulemesa abaserikale okubakwata. Ate abalala ne basigalawo bafaafaagane nabo wadde era poliisi yamaze n’ebawangula.
Bino byabadde ku Kaleerwe poliisi bwe yakoze ekikwekweto mwe yakwatidde abavubuka abaasobye 40 abagambibwa okutigomya abatuuze.
Abaserikale nga bamukutte nga ebiccupa bimusaze ebigere.
Charles Nsaba atwala poliisi y’oku Kaleerwe ng’ayambibwa Paul Kibuuka akulira ebyokwerinda mu muluka gwa Makerere (III) n’abaserikale b’eggye ezzibizi baakutte abavubuka okuva mu bitundu eby’enjawulo okuli Kiggundu Zooni, Ddobbi, Good Hope, Mayinja, Mini Triangle n’awalala era abasinga baasoose kuddusa baserikale okubeetoolooza ebyalo wadde ng’era baabakutte.
Abamu ku baakwatiddwa nga bali ku kabangali ya poliisi.
Kino ekikwekweto kyakubiri mu wiiki eno ng’ekyasoose, poliisi yakutte abavubuka 90 n’esunsulamu abatalina mutawaana. Mu kikwekweto kye kimu poliisi yagudde ku mutuuze Daniel Jjuuko ng’ono yabadde ne batabani be nga bazibukula kazambi okuva mu kaabuyonjo ng’akulukutira mu batuuze.
Waliwo n’omukazi gwe baakutte ng’agambibwa okuba omutunzi w’enjaga lukulwe mu Kiggundu Zooni.
Abaserikale nga batwala omu ku baakwatiddwa.
Wano wafi ira muloge