TOP

Bafana ayanjudde mukaziwe Fifi Da Queen

Added 10th November 2014

Omuyimbi Ziza Bafana yalinnye ku siteegi ku ssaawa 5:00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwomukaaga ku Club Ambiance e Bukesa, n’atandika okukuba abawagizi be emiziki era bwe yayimbye oluyimba lwa ‘Abantu baffe’ ne Pomini Pomini abantu ne basituka mu ntebe ne banyeenya ku biwato.

Bya RONALD MUBIRU

Omuyimbi Ziza Bafana yalinnye ku siteegi ku ssaawa 5:00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwomukaaga ku Club Ambiance e Bukesa, n’atandika okukuba abawagizi be emiziki era bwe yayimbye oluyimba lwa ‘Abantu baffe’ ne Pomini Pomini abantu ne basituka mu ntebe ne banyeenya ku biwato.

Waasoose bunkenke, Kreene omwabadde mutudde Bafana nga kimuyisa mu bbanga okumuleeta ku siteegi bwe kyalemereddwa ne kimusuula mu bawagizi. Bafana yalabye kimutwala mu bawagizi kwe kulaajana nti, “dereeva ntwala ku siteegi” wabula kyo ekyuma nga kyongera kumutwala  mu bantu. Baakisizza, n’avaamu olwo akabadi ke yabadde apanze okumutuusa ku siteegi, ne kagaana okukola.

Olwatuuse ku siteegi, abawagizi ne bamussa ku nninga ababuulire mukazi we omutuufu kye yasoose okugaana kyokka oluvannyuma n’ayita Fifi Da Queen omukozi wa Bukedde TV ne Bukedde Fa Ma nga bw’awoomereza nti, “Fifi mukwano jangu ku siteegi abantu bakulabeko.” Ne Fifi kwe kujja nga yenna yeemoola enduulu n’esaanikira ekifo ng’abamu bwe boogera obutonotono nti n’omwana wa Fifi eyaakaweza omwaka ogumu yandiba owuwe ng’ate abandi bawoza nti lwaki bulijjo bakukutakukuta. 

Omuwagizi wa Bafana, Sarah Lukwago yaguze olutambi lwe ku bukadde 10, Alex Lutaaya obukadde obusoba mu 5 n’abalala.

Abayimbi abalala abaasanyusizza abawagizi kwabaddeko; Bobi Wine, Moureen Nantume, King Saha n’abalala. Leero (Ssande), Bafana ali ku Afro Club Kasangati ng’anoonya amata g’omwana.

Bafana ayanjudde mukaziwe Fifi Da Queen

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...