TOP

Stecia Mayanja bamugaanyi okugaba jalibu

Added 20th February 2015

NG’EBULA mbale embaga y’Omuyimbi Stecia Mayanja ne bba Abbasi Mubiru etuuke, mikwano gye gimubuuliridde engeri gy’alina okukwata omusajja. Bamulabudde ne ku kabi akali mu kugaba jalibu.

NG’EBULA mbale embaga y’Omuyimbi Stecia Mayanja ne bba Abbasi Mubiru etuuke, mikwano gye gimubuuliridde engeri gy’alina okukwata omusajja. Bamulabudde ne ku kabi akali mu kugaba jalibu.

Bino byabadde mu lukiiko lw’okusonda ssente z’embaga ye ku Hotel Africana ku Lwokusatu akawungeezi era ng’ensimbi ezisoba mu bukadde bubiri ze zaasondeddwa kw’olwo. Mu kiseera kye kimu omuyimbi Rebecca  Jingo ayombedde mu lukiiko luno olw’abakiise okumuyita owoobusa n’ategeeza nti ssi wa bussa era tanoonya ekyasesezza ennyo abantu. Rebecca teyayongedeko nnyo ku nsonga eno.

Abayimbi okuli Julie Angume, Doreen Mutiibwa, Amelia Nambala baayimbye ennyimba ezibuulirira Stecia okunyweza obufumbo.

Ssaalongo Kijjambu yaweereddwa omukisa okufundikira okubuulirira ng’ono yasinze kusaba Stecia okwewala okugaba ‘jalibu’ anywerere ku bba.

Abaasonze kuliko Rebecca Jingo 500,000/- nga za buliwo, Julie Angume 500,000/- n’asasulako 200,000/- mu kaasi, Ssaalongo Kijjambu 100,000/- za buliwo, Tamale Godffrey 100,000/- nsuubize, Amelia Nambala 500,000/- n’asasulako 200,000/- n’abalala bangi.

Embaga eno yakubeerawo nga March 14, 2015 ng’enkiiko zituula buli Lwakusatu.

Stecia Mayanja bamugaanyi okugaba jalibu

More From The Author

Ow

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...