
Rose Tamale oba ani amusasula ebifaananyi by’akuba ebimumazeeko emirembe? Yabadde bbaala ya Waikiki ng’atongoza oluyimba lwe olupya Tubondige mu kivvulu ekyabadde kitegekeddwa maneja we Patrick Balikoowa.
Tamale obwedda tatereera ku ntebe anti ng’alina okukuba ebifaananyi naye nga buli amulaba yeebuuza eyabadde amutumye ebifaananyi bino ebyabadde bimutadde ku bunkeke biti okumumalako emirembe.
Ebifaananyi ebimutadde ku bunkenke ani abimutumye?