
MEEYA w’e Ntebe, Vincent Kayanja ne Kansala Nampijja Ruth banywi ba malwa oba baagenze kukeneka?
Baabadde balambula batuuze ku kyalo Lunyo era we baayingiriddeko mu kirabo gye banyweera amalwa.
Baabasanyukidde kyokka baakomye ku kutuula ne batunuulira abanywa amalwa n’oluvannyuma ne bafuluma nga buli omu yeebuuza oba baabadde bagenze kusunga.
Wamma Meeya ne Kansala, mwabadde mugenze kukola ki?
Meeya w’e Ntebe azze mu b’amalwa kusunga oba?