
NNAMUKADDE Kamiyati Nanziri ow’emyaka 75 ku kyalo Kiteredde mu Lukaya Town Council mu disitulikiti y’e Kalungu, addukidde ku poliisi n’aloopa mutabani we ayitirizza okufuweeta enjaga ate buli lw'aginywa amukwatira ejjambiya n'amugoba mu nnyumba ennene.
Nanziri agamba nti, mutabani we Hussein Mataala 30, yava gye yali abeera kati omwezi mulamba n’amuwa akazigo awaka mw'abadde abeera wabula kati atya awaka olw'omuyaga ono okumutiisa buli lunaku nga bw'ayinza okumutta singa tava mu nju nnene.
Poliisi ng'ekulembeddwaamu AIP Twaha Ssemanda, amyuka akulira bambega ku poliisi e Lukaya baasitukiddemu ne bazingako akazigo ka Mataala mwe yasangiddwa ng’awumuddemu ne bamukwata era n'ateekebwa ku ‘paatulo’.
Mu kazigo kano Mataala k'abadde yatuuma ofiisi, mwasangiddwaamu enjaga era n'aggulwako emisango gy'okutisatiisa maama we n'okusangibwa n'enjaga ku fayiro nnamba SD14/012/03/2014. Mataala yasoose kukalira mu baserikale nti, tebalina lukusa kumuggya mu ofiisi ye nga tebamaze kufuna k
Ofiisa, ani akuyise mu ofiisi yange onkwate?