
AMAZZI gasazeeko ssentebe Keziron Nobala okukkakkana nga gamugobye mu maka ge manya mu nju.
Era emirimu gy’ekyalo n’abagenyi be abalabira wabweru wa nnyumba anti gy’asiiba. Nobala ssentebe wa Central zooni mu Ndeeba.
Twamuguddeko nga bali mu kaweefube wa kusena mazzi nga bagaggya mu nju ne famire ye.
Agamba nti abantu abatadde ebigoma ebitono mu mwala be baleetedde amazzi okwanjaala mu maka ge.
Ssentebe katukusabire owone embeera eno oddemu okukola emirimu gy’ekyalo.
Amataba gagobye ssentebe mu maka ge