TOP

kasha De' Banka avudde mu TMT

Added 8th January 2016

Cameroon Gitawo ayogedde ku kuva kwa Katsha De'Banka mu TMT

 kasha De'Banka

kasha De'Banka

NGA Bannayuganda abakolera mu mawanga g’ebweru abajja kuno okuwuumulako n’okulya ennaku enkulu batandise okuddayo oluvannyuma lw’egandaalo lya Ssekukkulu okugwako,

Agava e South Africa ga mwanamulenzi, Katsha De’ Bank (Shafique Katumba) omu ku bakulira ekibiina kya ‘The Money Team Africa’ (TMT) akyabulidde banne bamwanukudde nti “oluddewo okugenda tubadde tuteekateeka ku kugoba, tetukolagana na bantu abali ku misango egya naggomola.

Katsha ng’amannya ge amatuufu ye Shafique Katumba ataasobola na kwetaba ku kabaga k’okutongoza kibiina kino nga December 30 mu Club Guvnor olw'okusigala e South Africa ng'awerennemba n'emisango egy'ekuusa ku bufere,

Camerooni Gitawo ku kkone ne Meddoie Ssentongo ku ddyo mu biseera byabwe eby'eddembe

 Eggulo yakedde kuteeka bubaka ku mukutu gwe ogwa face book obulaga bwavudde mu TMT ekimu ku bibiina by’abavubuka abavuganya mu nsike y’okulya obulamu n’abasuubiza abawagizi be okubategeeza mu bwangu ekiddako.

Cameroon Gitawo akulira (TMT) akakasizZa ekya Katsha okuva mu kibiina nagattako nti kino kibakoze bulungi kubanga omuntu awerennemba n’emisango gy’obufere okubaviira kubanga abadde ayonoona erinnya ly’ekibiina era kati takkirizibwa kwetaba mu mirimu oba pulojekiti z’ekibiina kino omuli okuyamba abaana, okutumbula ebitone by’abayimbi n’ebirala

“Mu TMT kati tusigadde; nze Gitawo (CEO), (Meddie Ssentongo (dayirekita), Julius Mugerwa (memba) ne Fred Ssekyanja (maneja) era kati kigenda kutambula bulungi kubanga abadde atabula avuddemu.”

Okwawukana kwa Katsha ku banne kuviiriddeko abantu okusigala nga beebuuza ddala kizibu ki kyalina kubanga ne mu December wa 2014 ab'ekibiina kya Rich Gang baamugoba ku ssaawa esembayo  nga bagenda okkola akabaga kaabwe nga bagamba nti  taweza kawumbi ka ssente ku akawunta ye nga kino kyekimu ku bisaanyizo ebikulu mmemba omutuufu by'alina okuba nabyo

Kino kyanyiiza Katsha n'asalawo okwegatta ne Cameroon Gitawo ssaako Meddie Ssentongo bakola ekibiina kya TMT okumenyawo aba Rich Gang. Katsha aba Rich Gang yabeetegekera n'asindika ne mmotoka 3 omuli Lamborgin, Hamer, Ne Bently asobole "okujooga" mu december wabula kino tekyasobose olw'okufuna ebizibu ate kati ekizzeeko kwawukana ne banne aba TMT.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...