
TEMUNZITA KUNNEMESA SSANYU: Kalule ng’alaajana bamusonyiwe.
ABANTU baabadde basimbye ennyiriri bakuba akalulu nga Kalule ali ku kyalo ky’e Kazo Muganzirwazza e Wakiso anyagulula bikunta by’abatuuze. Abatuuze baamuguddeko ng’akaalakaala ne bulangiti ne bamubuuza gy’agitwala.
Yabazzeemu nti ava kugigula ne bamusaba lisiiti n’okubatwala wagiguze ng’amatama ntengo. Ekyaddiridde kumukuba miggo nga bagamba nti bakooye abasajja abakulu abatayagala kukola ne balowooza okufuna ebyendola. Wabula bino olwagudde mu matu g’abavubuka ne baleeta ebipiira nga baagala okumukumako omuliro.
Bwe baatandise okubimwambaza n’atema omulanga n’okulaajana ng’asaba bamusonyiwe ng’agamba nti bwe bamutta bajja kuba bamulemesezza okweyagalira mu kisanja ekipya. Kalule yategeezezza nti mutuuze w’e Bwaise mu Lufula Zooni. Yasesezza abantu bwe yagambye nti bwe bamusonyiwa tajja kuddamu kubba.