
EBINTU bizibu era enjogera ataakulaba....... yatuukidde ddala ku Shanks Vivid. Shanks ng’amannya amatuufu ye Robert Baguma eyakyaka ennyo mu kisaawe ky’okuyimba ku ntandikwa y’emyaka gya 1990, ennyambala ye yamuleetedde akabasa era yasuze mu kanduukulu ka Poliisi e Kabalagala.
Omanyi Vivid ku Lwokusatu yabadde yeesaze empale n’enkoofi ira y’ekijaasi, abapoliisi ne bamusanga ne baagala abannyonnyole ku bintu ebyo. Ebyembi Vivid eyalabise nga yabadde aliko byakozesezza yatandise okwogerera abaserikale amafuukule nga ye bwe baabadde batalina kumumanyira kuba ne kisooka ye ‘Mungereza’ eyakoowa Uganda ate nga ssereebu.
Bino birabika byayongedde okunyiiza bafande era okukkakkana ne bamutwala ku poliisi. Oluvannyuma Poliisi yategedde ekituufu nti ye Shanks Vivid eyaliko ku kyeyo.
Bino byonna tebyamutaasizza kaduukulu era n’aggulwako omusango gw’okubeera n’ebyambalo by’amagye ku fayiro nnamba 25/24/02/2016. Ate bwe yatuuse mu kaduukulu n’adda mu kuyimbira basibe nti ‘abasibe b’e Kabalagala mwenna muli ba kabi’ olwo enduulu n’elaya mu kaduukulu. Oba byaggweredde wa?