
Ssebalamu (ku kkono) ng’afuuwa Walukagga. Ku ddyo ye Meddie Nsereko
ALOWOOZA nti abagagga b’omu Kampala ssente zaabaggwaako, yeerimba! Nnaggagga John Ssebalamu yasanyuse namansa ssente mu nkola y’ekisama eyawuniikirizza basuubuzi banne ng’afuuwa omuyimbi Mathias Walukagga ne Meddie Nsereko.
Ssebalamu yabadde ku kabaga k’omusuubuzi, Maria Nakaweesi kwe yabadde asiimira basuubuzi abamuwa emirimu akaabadde ku Freedom City gye buvuddeko.
Ssebalamu yatuuse kimpoowooze n’atuula nga tavaamu kigambo wabula Walukagga olwasuddemu oluyimba lwa “Abaasomoka Lwera,” omugagga n’asanyukira mu ntebe mwe yabadde Walukagga n’amutuukirira n’atandika okuyimbira w’ali.
Omugagga akadde ako yasiseeyo bbandaali ya ssente n’antandika okumufuuwa mu nkola ey’ekisama.
Meddie Nsereko olwalabye omugagga ng’azzayo bbandaali ng’ekyali nnene naye n’alumba.
Omugagga olwakutte mu nsawo Meddie kwe kulaajana nti “mukama wange totoolako, fi izi zisembedde.”
Meddie olwazifunye naye ebiseera ebyaddiridde n’agaziwa nga buli eyabadde amusala mu maaso n’amusanyusa amusimba mutwalo omwabadde n’aba kkamera.