
EYAGAMBA nti ebyobufuzi kazannyo, teyali mukyamu. Abanoonya obululu bangi bubatuusizza mu bifo ebizibu ne bakola ne bye baali tebalowozangako mu bulamu.
Okumanya bizibu, Faridah Nakanjakko eyeesimbyewo ku bwakansala okukiikirira abe Makerere III ku munisipaali e Kawempe kampeyini zaamutuusizzaako ne mu bbaala ng’agamba n’ababeerayo waakubakiikirira.
Abawagizi be mu bbaala ezimu baabadde bamutuusaayo bamusitulidde ku mmeeza kuba nti ke kabonero ke okukakasa nti byonna by’agenda okubateeseza baakubikkaanyaako nga bayita mu kuteesa ku mmeeza.