
Situka tuzine: Ekijuujulu nga kisaba Ssengendo bazinemu. Wansi : Naye mangada: Omuwala ng’akubye Ssengendo oluuso. Ate ku ddyo; Bannange omusajja azitowa! Omuwala ng’alaajana.
OMUYIMBI wa kadongo kamu, Amir Ssengondo Bannakampala abatamutegeera yabavaako.
Wadde ayimbye ennyimba za kadongokamu ennungi eziwera, musajjawattu ono tawunyirizangako ku ngule ya ttuluba lino.
Kyokka ssinga waaliyo engule y’omuyimbi asinga okussa katemba ku siteegi, teri amuwunyamu.
Yabaddeko e Mityana mu kivvulu ekyatuumiddwa ‘Entujjo ya Bannamityana’ n’afuukuula ebyana byayo n’oluyimba lwe olupya olwa ‘Akacungwa’.
Yeemooledde ku siteegi ekyawalirizza kyanakiwala okuva mu badigize ne kimwegattako ku siteegi.
Yayongedde obubadi n’okwegondeza ku kiwala ng’omukira gwa kkapa n’aleka abavubuka abaabaddeyo nga beebuuza gy’aggya sitamina n’amazina ge yayolesezza.