TOP

Tamale Mirundi' asesezza omugagga n'alumwa olubuto

Added 12th March 2016

Tamale Mirundi’ asesezza omugagga n’alumwa olubuto

KAZANNYIRIZI Innocent Toby Kafeero abangi gwe bamanyi nga ‘Tamale Mirundi’ olw’okugeegeenya omuwabuzi wa Pulezidenti ku by’amawulire omukukunavu Tamale Mirundi yassizza abasuubuzi enseko embuto ne zaagala n’okubaluma.

Yabadde ku kabaga ka mugagga Maria Nakaweesi ku Freedom City gye yayitiddwa asanyuse ku bantu. ‘Mirundi’ yatudde ne Meddie Nsereko ne beefuula ng’abali ku pulogulaamu mu situdiyo za leediyo ng’akyaziddwa.

Engeri obwedda gy’addamu ebibuuzo ebyabadde bimubuuzibwa, ng’ageegeenyeza ddala Omukukunavu mu ngeri gy’abiddamu olumu n’obukambwe olwo n’assa abantu enseko ng’alumba abamu ku baabaddewo.

Omanyi, ne ssentebe w’e Lwengo, George Mutabaazi yabaddeyo n’amukonjera n’alumba n’abalala: “Nkugambye Mutabaazi Mutanzania era nga bo bangi muno nga naawe Nsereko mw’oli, olowooza tetwakumanya?’ Abantu yabalekedde nseko era abasinga bakira n’amaziga gabayitamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...