TOP

Musajja ggwe ndeka, wansasula mmeka olyoke onneesibeko?

Added 25th March 2016

Kiddiridde Namiiro okudduka ewa Mukiibi n’afumbirwa omusajja omulala gwe yategeddeko erya Allan. Edward Mukiibi 28, omutuuze w’e Ssumbwe ku lw’e Mityana mu Wakiso y’ali mu kulaajana.

 Nabisere maama wa Namiiro. Wakati Mukiibi eyatutte nnyina wa mukyala we ku poliisi. Ku ddyo ye Namiiro eyadduse ewa Mukiibi.

Nabisere maama wa Namiiro. Wakati Mukiibi eyatutte nnyina wa mukyala we ku poliisi. Ku ddyo ye Namiiro eyadduse ewa Mukiibi.

OMUSAJJA avudde mu mbeera n’atwala Hadijah Nabisere omukadde amuzaalira omukyala ne muganzi we Sauda Namiiro ku poliisi y’e Bulenga ng’abalanga kumufera laavu n’okumuliira ssente.

Kiddiridde Namiiro okudduka ewa Mukiibi n’afumbirwa omusajja omulala gwe yategeddeko erya Allan. Edward Mukiibi 28, omutuuze w’e Ssumbwe ku lw’e Mityana mu Wakiso y’ali mu kulaajana.

Yagambye nti Nabisere bwe yategeera nti ayagala muwala we mu 2014 n’amusaba amusasulire ssente z’okusoma kkoosi y’okusiba enviiri.

Mu myaka esatu gye bamaze nga baagalana omuwala yamuzaalamu abaana babiri ebyembi ne bafa.

Mukiibi yalabye laavu emulinnye ku mutwe ku kupangisiriza Namiiro ennyumba e Bulenga n’aguliramu n’ebintu batandike obufumbo.

Yagenze okutuuka awaka gye bazaala omuwala nga yaddukawo ali wa musajja mulala afumba.

Namiiro yagambye nti alina ensonga ezamuddusizza ewa Mukiibi ate alina eddembe okufumbirwa omusajja gw’ayagala kubanga talina yali amusasudde mu butongole.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulangira Ssimbwa

Omulangira Ssimbwa eyasimat...

Omulangira Arnold Ssimbwa afudde. Ono ye Muzzukkulu wa Ssekabaka Muteesa II omukulu era y'omu ku baasimattuka akabenje...

Nnabagereka wa Buganda yeet...

Nnaabagereka wa Buganda, Sylvia Nagginda yeetabye ku mukolo gw'okuwerekera omwoyo gw'omugenzi Dr. Cyprian Kizito...

Abasumba nga banyokeza akabaani okwetoloola mulambo gwa Ssaabasumba

Fr. Ssajjabbi annyonnyodde ...

OMUSUMBA Severus Jjumba bwe yabadde tannatandika Mmisa ya kusabira mwoyo gwa Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga...

Kalidinaali Wamala

Kalidinaali Emmanuel Wamala...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala akungubagidde Ssaabasumba Dr.Cyprian Kizito Lwanga eyamuddira mu bigere  n'alaga ennyiike...

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga...

ENTEEKATEEKA z'okuziika Ssaabasumba Dr .Cyprian Kizito Lwanga ziwedde, olukiiko oluzikolako bwe lutegeezezza ng'...