
Ono omuvubuka yeefudde musawo akabera anti yabadde alinga apima akabina k’omukazi. kU DDYO, Omuvubuka ng’asitudde omukazi.
BAMAAMA beekoze ekigenyi bwe beesaze obugoye obuwugirwamu ne beesogga amazzi sikulwa ng’omulembe gubayitako.
Bamaama bano abaabadde e Busaabala ku One Love Beach, kirabika baabadde ku mulamwa gwa luyimba lwa, Abdul Mulaasi lwe yayimba nti ‘Enkulu Tenywa! Anti beesaze obukete nga balinga abayita abavubuka babeegatteko okukuba eddubi.
N’abavubuka bwe baalabye bamaama bano nga basuddemu bukookoonyo ne babeegattako ne babeebagajja nga waakiri bw’aba tamusobola ayita munne n’amuyamba okumwetikka.
Kino kyaleetedde abamu okukyusa mu ntunula nga bakirako abaagala okukaaba naye nga bamaama balemeddeko.
Wabula abantu abamu bakira beewunaganya nti ekita ekitava ku ssengejjero tekiifuuke wankindo?