TOP

Ono ebifaananyi ebimubonyaabonya ani abisasula

Added 2nd April 2016

MWANA muwala yeezinze ku Henry Mwanje omusunyi wa piyano katono amulemese okukubira abadigize emiziki.

 Omuwala ng’akuba ebifaananyi

Omuwala ng’akuba ebifaananyi

MWANA muwala yeezinze ku Henry Mwanje omusunyi wa piyano katono amulemese okukubira abadigize emiziki.

Baabadde ku kivvulu kya Da Nu Eagles ku Nikan e Lweza ku Paasika. Omuwala ono yazze anekedde mu jjiini ye bbulu ng’eriko ebitulituli ku bisambi ng’ataddeko bbulawuzi ya ‘kundi shoo’ enjeru n’engatto ye empanvu.

Yasoose kutuula ku mmeeza ye yekka ng’ejjudde ebyokunywa ng’alabika ye yabadde yeeteekamu ssente anti yabaddeko buli kika kya mwenge.

Yasoose kuzinira mu katebe naye omuyimbi Henry Mwanje bwe yalinnye ku siteegi, n’abanga agguddemu ekyeddalu.

Yasituse mu katebe n’alumba okumpi ne siteegi n’atandika okukuba Mwanje ebifaananyi mu buli ‘ango’ nga musanyufu byansusso ng’akirako agenda okusasulwa.

Yalabye tekimumalidde n’alinnya ku siteegi n’atema ddansi eno nga bwamweweeka ku mugongo wamma Mayanja ne yeetamwa olwo abadigize ne batandika okumuleekaanira nga bamulagira ave ku siteegi wabula nga tebiwulira okutuusa Mayanja bwe yamukubye akaama n’amuviira.

Oba yamugambye ki? Nze naawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...