TOP

Embaga ya MC Kats ne Fille efuuse gannyana

Added 8th April 2016

EMBAGA ya MC Kats n'omuyimbi Fille Mutoni eyayimba ‘Gwe Asinga, Double Trouble n’endala efuuse ga nnyana aganywebwa omuwangaazi.

 Mc Kats ne Fille nga bali mu mukwano.

Mc Kats ne Fille nga bali mu mukwano.

EMBAGA ya MC Kats n'omuyimbi Fille Mutoni eyayimba ‘Gwe Asinga, Double Trouble n’endala efuuse ga nnyana aganywebwa omuwangaazi.

Guno omulundi gwakusatu nga bagyongezaayo ekitabudde abamu ku bawagizi baabwe ne batuuka n’okubuuza MC Kats nti bw’aba talina ssente ababuulire bamusondere.

Mc Kats ne Fille nga bali mu mukwano.

Agava mu nkambi ya Kats gagamba nti oluvannyuma lwa Ivan Ssemwanga ne King Lawrence abaali basuubizza Kats okumuteekamu ssente olw’enkolagana gye balina naye okugaana okukituukiriza ate nga kwe yali asibidde olukoba, yakkanyizza ne kabiite we embaga bagyongezeeyo.

Embaga eno yasooka kulangirirwa kubaawo mu August wa 2014 bwe bali baakaagalana ne Fille okumukakasa nti amwagala bya siriyaasi naye ne bafunamu obutakkaanya bwetyo n’esazibwaamu.

Mc Kats ne Fille nga bali mu mukwano.

Mu March wa 2015 nga Fille amaze okumuzaalira, Kats eyeegulidde erinnya olw’okukola obwa kalabaalaba ku mikolo gy’abavubuka yaddamu okuttukiza eby’embaga okulaga Fille engeri gy’amwagalamu n’okumwebaza okumuzaalira bbebi.

Baali bagitegese kubaawo mu November era wano Ssemwanga ne banne kwe kumusuubiza okumukolera omukolo ogw’amaanyi kwe kwongezaayo waakiri bagikole emyezi esatu mu maaso (mu March) nakyo ekitaatuukiridde nga kati yasigazza kwemagaza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...