
OMUYIMBI, Evelyn Ndagire amanyiddwa nga Brown Shuga owa SIPAPA Entertainment eyayimba ‘Kisoboka’ bamukozeemu omulimu.
Ndagire amaze akabanga nga takyawulikika, twamuguddeko ng’asitudde omubiri, ataddeko n’akanyiriro akatali kaabulijjo.
Wadde nga yabadde mu kiteeteeyi, ku ngulu yataddeko kabulawuzi akawanvu, olubuto olwabadde luyiseemu obwedda aluweeweeta n’okwewaana nga bwe yeesunga okufuna bbebi.
Bwe yabuuziddwa eyamukozeemu omulimu guno, Ndagire yazzeemu kimu “Tombuuza nnyo ebisa biyinza okunsimbira wano.
Ndagire mu kusooka yali muyimbi mu Kream Production eya Haruna Mubiru.