TOP

Akasimu ke munkubira simanyi bwe kafaanana

Added 29th April 2016

NZE akasimu ke mwogerako simanyi bwe kafaanana kuba sinnakakwatako. Bwatyo musajjamukulu bwe yalaajanye ng’abatuuze bamuwalabanya okumuzza ku kawooteeri gye yabbye akasimu.

 Omusajja nga bamuwalabanya

Omusajja nga bamuwalabanya

NZE akasimu ke mwogerako simanyi bwe kafaanana kuba sinnakakwatako. Bwatyo musajjamukulu bwe yalaajanye ng’abatuuze bamuwalabanya okumuzza ku kawooteeri gye yabbye akasimu.

Mu kawooteeri katonninnyira kano, nnannyiniko amannyi okuleka akasimu ke ku mmeeza gye bateekako essowaani n’atandika okutambuza emmere. Kigambibwa nti ggaayi ono yazze kubuuza bbeeyi ya mmere yaabwe naye nga yatuukidde ddala mu ffumbiro gye bateeka amasowaani era gye yakabbidde.

Bwe baamubuuzizza ekika ky’emmere gye yabadde ayagala n’abagamba kaasooke yeerowooze. Omukyala yagenze okunoonya essimu ye nga tagiraba we yabadde agitadde kwe kumugoba ne bamukwata ne bamubuuza gy’agitadde nga bwe bamuyisaamu empi n’ensambaggere. Oluvannyuma yagibawadde ne bamuleka n’agenda ng’atonnya musaayi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.

Bobi Wine agudde mu lukwe l...

Asimbudde Fort Portal kumakya olwaleero n’agenda e Bundibugyo kyokka tebamuganyizza kutuuka mu kibuga wakati

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...