
MUSAJJA wa Katonda eky’okubeera mu gganduula tekyamulobedde kulaga ky’alinawo. Omulyoyi w’emyoyo mu ssomero lya Rubaga Girls era nga Faaza mu kigo ky’e Lubaga ku Lutikko yacamudde abantu, abasomesa b’essomero eryo bwe baabadde battunka n’abazadde mu kusika omuguwa.
Faaza Deogratius Kiibi yasoose kugaana kwetaba mu mpaka zino olwo kalabaalaba w’olunaku n’atandika okumujubisa nti kirabika talina ludda.
Kino kyamuwalirizza okubategeeza nga ku mulundi guno bw’agenda okubeera ku ludda lw’abazadde era n’abeeyungako naye nga bw’abagamba nti basika nnyo tebamuswaza kuba ye Faaza era okukkakkana nga basibaganye. Baabadde ku lunaku lw’emizannyo olw’essomero lino.